Psalms 138:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wadde Omukama ayitiridde, kyokka afa ku mutene; naye omwekuza amulengerera wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga Mukama asukkulumye, naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu, naye afaayo eri abo abeetoowaza; Naye ab'amalala ababeera wala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wadde Mukama asukkulumye, kyokka alowooza ku beetoowaze; Wabula abeekulumbaza, abeesamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu, naye n'alowooza abeetoowaza: Naye ab'amalala abamanya ng'ayima wala.