Psalms 138:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mba ntambulira mu kabi, okuuma obulamu bwange; ogololera omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange; n'omukono gwo ogwa ddyo n'ondokola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu, naye ggwe okuuma obulamu bwange; ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe, era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga nneetooloddwa ebizibu, naye gwe okuuma obulamu bwange, Ogolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange, N'omukono gwo ogwa ddyo ondokola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe mbeera mu buyinike, onkuuma nga ndi mulamu. Olwanyisa abalabe bange abasunguwadde, n'omponya n'amaanyi go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Newakubadde nga ntambulira wakati mu nnaku, olinzuukiza; Oligolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange, N'omukono gwo ogwa ddyo gulindokola.