Psalms 138:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama, alinsasulira ebyange. Ayi Mukama, ekisa kyo kya mirembe gyonna; tonyooma mirimu gya mikono gyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde; kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna. Tolekulira ebyo bye watonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alituukiriza ebyo by'anteekeddeteekedde; Okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama olituukiriza bye wasuubiza kubanga ekisa kyo kya mirembe gyonna. Tosuulirira mulimu gwe watandika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama alituukiriza ebigambo ebinfaako: Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.