Psalms 139:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'enzikiza yennyini teriba nkwafu w'oli; ekiro kiritangaala nga misana, kubanga ku ggwe enzikiza eba nga kitangaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza, ekiro kyakaayakana ng’emisana; kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye era enzikiza gy'oli teba kizikiza, Naye ekiro kyakaayakana ng'emisana; Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'enzikiza yennyini ggwe w'oli teba nkwafu, n'ekiro kitangaala ng'emisana. Ku ggwe enzikiza n'ekitangaala biba kye kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Newakubadde enzikiza teyeekisa eri ggwe, Naye ekiro kyaka ng'omusana: Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli.