Psalms 139:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagumba gange tegaakukwekebwa, bwe nali nkolebwa eyo mu nkuzi, nga ndukibwa wamu ekkuzimu eyo mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wammanya nga ntondebwa, bwe nakolerwa mu kyama; bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagumba gange ogamanyi bulungi, n'engeri gye nabumbirwa mu kyama nga ntonderwa wansi mu ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi.