Psalms 139:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso go gandaba nga nkyakolebwa bukolebwa, era n'ennaku zange zonna mpandiike mu kitabo kyo; zaategekebwa dda nga n'olumu luti terunnabaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. Ebyabumbibwanga buli lunaku buli lunaku, Bwe byali nga tebinnabaawo n'ekimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wandaba nga sinnazaalibwa. Ennaku ezampeebwa, zonna waziwandiika mu kitabo nga tezinnaba na kutandika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa.