Psalms 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ayima mu ggulu, n'atunula wansi ku baana b'abantu, alabe oba mulimu ategeera, anoonya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi ng’asinziira mu ggulu, okulaba obanga mulimu mu bo ategeera, era abanoonya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama asinziira mu ggulu n'atunuulira abantu. Alabe oba nga waliwo abaategeera, Oba nga waliwo abaanoonya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama asinziira mu ggulu, n'atunuulira abantu, alabe oba nga waliwo abategeera, oba nga waliwo abanoonya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yatunuulira ng'ayima mu ggulu abaana b'abantu, Okulaba nga waliwo abaategeera, Abaanoonya Katonda.