Psalms 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakola obubi tebaliyiga, abo abakavvula abantu bange, ng'abalya omugaati, abatawanjagira Mukama?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga? Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere; so tebakoowoola Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebalina kumanya, bonna abakola ebibi, abalya abantu bange ng'abalya emmere, Era abatakoowoola Mukama?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abakola ebibi, tebalina magezi? Bakavvula abantu bange ng'abalya emmere, era tebasinza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abakola obutali butuukirivu tebalina magezi? Abalya abantu bange nga bwe balya emmere, So tebakoowoola Mukama.