Psalms 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa nno Yisirayeli afunye obulokofu okuva mu Siyoni. Omukama bw'alizza abantu be okuva mu busibe, Yakobo alisagambiza ne Yisirayeli alisanyuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni! Mukama bw’alirokola abantu be, Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa obulokozi bwa Isiraeri buvudde mu Sayuuni! Mukama bw'alizzaawo emirembe mu bantu be, Yakobo alisanyuka, Isiraeri alijaguza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa nno oyo aliwonya Yisirayeli alisibuka mu Siyooni! Mukama bw'alizzaawo embeera ennungi mu bantu be, aba Yakobo balisanyuka, Abayisirayeli balijaguza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa obulokozi bwa Isiraeri buvudde mu Sayuuni! Mukama bw'alizzaayo obusibe obw'abantu be, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.