Psalms 140:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu ow'olulimi olukonjera aleme kunywerawo mu nsi, n'omuntu omukambwe obubenje bumuyigganye okumusaanyaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonyaabonyezebwa, ayamba abeetaaga okuyisibwa mu bwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi nga Mukama ataasa ababonyaabonyezebwa, era alwanirira abanaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi nga Mukama aliwoza omusango gw'abo ababonyaabonyezebwa, N'ensonga ey'abanaku.