Psalms 140:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, mponya abantu ababi, ntaasa abantu abakambwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi; abanoonya entalo buli kiseera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abategeka okukola eby'ettima mu mutima gwabwe; abanoonya entalo buli kiseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bayiiya eby'ettima mu mitima gyabwe, teboosa kusiikuula ntalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayiiya ettima mu mutima gwabwe; Bakuŋŋaananga bulijjo okulwana.