Psalms 140:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennimi zaabwe bazisongola ng'ez'omusota, obusagwa bw'essalambwa buli wansi w'emimwa gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama; omponye abantu abakambwe abateesa okunkyamya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onkuume, Ayi Mukama, eri emikono gy'ababi; Omponye abantu abakambwe; Abateesezza okunkyamya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, mponya abantu ababi, ontaase abatemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onkuume, ai Mukama, eri emikono gy'ababi; Omponye eri omutemu: Abateesezza okukyamya ebigere byange olw'amaanyi.