Psalms 140:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ntaasa, ayi Mukama, omukono gw'omubi; mponya abantu abakambwe, abalowooza okutega ebigere byange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ab’amalala banteze omutego; banjuluzza ekitimba kyabwe; ne batega emitego mu kkubo lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'amalala banteze omutego; Banjuluza ekitimba kyabwe; Batega emitego mu kkubo lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abeekulumbaza banteze omutego, baaliiridde ekitimba, ne bakitega mu kkubo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'amalala bantegedde omutego n'emigwa; Bayaze ekitimba mu kkubo: Bantegedde ebyambika. (Seera)