Psalms 140:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ŋŋamba Omukama nti: “Ggwe Katonda wange,” ayi Mukama, wuliriza eddoboozi ly'okuwanjaga kwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go, ggwe engabo yange mu lutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, Mukama wange, omulokozi wange ow'amaanyi; Wambikka ku mutwe gwange ku lunaku olw'olutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, Mukama wange, omuyambi wange ow'amaanyi, ggwe onkuumye mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda Mukama, amaanyi ag'obulokozi bwange. Wambikka ku mutwe gwange ku lunaku olw'olutalo.