Psalms 141:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essaala yange eyambuke mu maso go ng'obubaani, Bwe nsitula emikono gyange, kibeere ng'ekitambiro eky'akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go, n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusaba kwange kubeere ng'obubaani mu maaso go; N'okugolola emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwegayirira kwange, kunyooke okutuuka gy'oli ng'obubaani, n'okugolola emikono gyange kube ng'ekitambiro eky'akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng'omugavu; Okugololwa kw'emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi.