Psalms 141:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwange toguleka kwewunzikira ku kibi, okwetaba mu bikolwa ebibi eby'abakozi b'ebyambyone; tondeka kulya ku bijjulo byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi, n’okwemalira mu bikolwa ebibi; nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu, wadde okulya ku mmere yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tolekanga mutima gwange kukola kibi kyonna. Okwemalira mu bikolwa ebibi, Awamu n'abo abakola ebitali bya butuukirivu; era nneme okulya ku mmere yaabwe empoomerevu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tondeka kwagala kukola kibi wadde okwetaba n'abakola ebibi, era nnemenga kwegatta nabo mu kulya embaga zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tokyusanga mutima gwange eri ekibi kyonna. Okugenderera ebikolwa eby'obubi Awamu: n'abo abakola ebitali bya butuukirivu: So nnemenga okulya ku mmere yaabwe empoomerevu.