Psalms 141:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka omutuukirivu ambonereze na kisa, ankomeko, naye omuzigo gw'oli akola ekibi tegulisiiga mutwe gwange; kubanga bwe mba nsaba, nnwanyisa bulijjo obwonoonefu bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa; muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange; sijja kugagaana. Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leka omutuukirivu ankube, oba annenye mu kisa, Era tokkiriza amafuta go mubi okufukibwa ku mutwe gwange; Kuba okusaba kwange tekukiriziganya na bikolwa byabwe ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omulungi ambonereze oba annenye n'ekisa. Naye sikkiriza kitiibwa ekimpeebwa abantu ababi, kubanga bulijjo nnwanyisa ebikolwa byabwe ebibi, nga nsaba Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutuukirivu ankubenga nga kwa kisa; Era ambuulirirenga, ng'amafuta ku mutwe; Omutwe gwange gulemenga okugagaana: Kuba newakubadde, mu bubi bwabwe okusaba kwange kunaabeererangawo.