Psalms 141:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafuzi baabwe nga bamaze okusulinkibwa ku njazi, olwo balimanya nti ebigambo byange byalinga birungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango, olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ababi bwe baliweebwayo eri ab'okubasalira omusango, Ne balyoka bayiga nti, “Ekigambo kya Mukama kya mazima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafuzi baabwe bwe balisuulibwa wansi nga bawanulwa ku njazi empanvu, abantu lwe balimanya ebigambo byange bwe biri eby'amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalamuzi baabwe basuulibwa ku mabbali g'ejjinja; Nabo baliwulira ebigambo byange; kubanga biwoomerevu.