Psalms 141:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'amafunfugu g'ettaka bwe gasaasaanyizibwa ku ttaka, n'amagumba gaabwe bwe galisansibwa gatyo ku mimwa gy'amagombe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike, n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka, N'amagumba gaabwe galisaasaanyizibwa ku mulyango gw'emagombe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagumba gaabwe galisaasaanyizibwa ku mulyango gw'emagombe ng'ettaka eritemeddwa amavuunike ne gakubibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka, N'amagumba gaffe bwe gatyo gasaasaanidde ku kamwa k'amagombe.