Psalms 141:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ayi Mukama Omuyinza, amaaso gange gali ku ggwe; ewuwo gye nzirukira, tondeka kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda; mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, Ayi Mukama Katonda; Nneesiga gwe, tondeka nga ssirina annyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Katonda, nze ntunuulira ggwe, era neesiga ggwe. Tondeka nga siriiko anannyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, ai Katonda Mukama: Nkwesiga ggwe; toleka mmeeme yange nga teriiko anannyamba.