Psalms 142:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omutima gunnyenjebuse, ggwe omanyi ekkubo lyange. Mu kkubo mwe mpita, mwe bankwekedde ebitimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera; sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anaambeera; Ekiddukiro kimbuze; tewali n'omu anfaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntunula ku mabbali ndaba nga tewali anfaako. Tewali gye nzirukira, tewali n'omu annumirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mutunule ku mukono gwange ogwa ddyo, mulabe; kubanga tewali muntu ammanyi: Ekiddukiro kimbuze; tewali muntu ayagala emmeeme yange: