Psalms 143:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera erinnya lyo, ayi Mukama, nkuuma nga ndi mulamu, mu butuukirivu bwo omwoyo gwange guggye mu nnaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume, mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume; Mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, kuuma obulamu bwange nga bwe wasuubiza. Nga bw'oli omulungi, onzigye mu buyinike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onzuukize, ai Mukama, olw'erinnya lyo: Mu butuukirivu bwo oggyemu emmeeme yange mu nnaku.