Psalms 143:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti omulabe ayigganya obulamu bwange, ambetentera ku ttaka, ansuza mu nzikiza ng'abafu abaafa edda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi; anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange; Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi. Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulabe anjigganyizza, ampangulidde ddala, n'anteeka mu kizikiza, ne mba ng'abaafa edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange; Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi: Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda.