Psalms 143:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, yanguwa okunnyanukula, anti omwoyo gumpweddemu; leka kunkweka maaso go, sikulwa nga mbeera ng'abo abakkirira mu bunnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama, kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi. Tonkisa maaso go, nneme okufaanana ng’abafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yanguwa okumpitaba, Ayi Mukama; omwoyo gwange guggwaamu amaanyi; Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakka mu bunnya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, yanguwa okunziramu, nzigwamu amaanyi. Tonneekweka, nneme kuba ng'abo abakkirira emagombe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyanguwe okumpitaba, ai Mukama; omwoyo gwange guggwaawo: Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakkira mu bunnya.