Psalms 143:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya mpa okuwulira ekisa kyo, kubanga nsuubira mu ggwe; ndaga ekkubo mwe mba ntambulira, kubanga gy'oli gye nsitulidde omwoyo gwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo; kubanga ggwe gwe neesiga. Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu, kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leka mpulirenga ku nkya ku kwagala kwo; kubanga ggwe nneesiga. Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ombuulire eby'ekisa kyo buli nkya, kubanga neesiga ggwe. Ondagirire ekkubo lye mba nkwata, kubanga nnyimusiza omwoyo gwange gy'oli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe: Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.