Psalms 144:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzigyayo era mponya mu mikono gy'ab'amawanga, ab'akamwa akoogera eby'obulimba, ne ddyo waabwe, ddyo ow'enkwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndokola, omponye onzigye mu mukono gwa bannamawanga bano ab’emimwa egyogera eby’obulimba, era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omponye, onziggye mu mukono gwa bannamawanga, Aboogera eby'obulimba, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omponye okuttibwa abalabe abakambwe. Onzigye mu buyinza bwa bannamawanga, abatayogera mazima era abalayira eby'obulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omponye, onziye mu mukono gwa bannaggwanga, Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.