Psalms 144:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana baffe babe ng'ebimera ebyakula obulungi okuva mu buvubuka bwabyo; bawala baffe babe ng'empagi ez'omu nsonda, ezaawundibwa okuwoomya Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama, babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi, ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, babeere ng'emiti egikulidde ddala; N'abawala baffe ng'empagi ez'omu nsonda ezibajjibwa okuzimba olubiri lwa kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani baffe bakule bulungi ng'ebimera, mu buvubuka bwabwe. Bawala baffe babe ng'empagi engolokofu okuzimbirwa olubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani baffe bwe baliba ng'emiti egikuze nga bakyali bavubuka; N'abawala baffe ng'amayinja ag'omu nsonda agabajjibwa nga bwe bagabajjira mu lubiri;