Psalms 144:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beesiimye abantu abafuna ebyo, beesiimye abantu Omukama nga ye Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye! Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abaweereddwa emikisa eggyo beesiimye, Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggwanga lya mukisa eririna ebiri ng'ebyo. Ba mukisa abasinza Mukama nga ye Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balina omukisa abantu ababeera bwe batyo: Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe ye Mukama.