Psalms 144:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, nzija kukuyimbira oluyimba oluggya, nzija kukuyimbira ku ntongooli y'enkoba ekkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya; nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, Ayi Katonda; N'ennanga erina enkoba ekkumi nnaayimbanga okukutendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaakuyimbira oluyimba oluggya, ayi Katonda, ku nnanga ey'enkoba ekkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, ai Katonda: N'ennanga erina enkoba ekkumi naayimbanga okukutendereza.