Psalms 145:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, ebitonde byo byonna bikutenda, n'abatuukirivu bo bonna balikutendereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama; n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, Ayi Mukama; N'abatukuvu bo banaakutenderezanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebitonde byo byonna binaakutenderezanga, ayi Mukama, n'abantu bo bonna banaakwebazanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, ai Mukama; N'abatukuvu bo banaakweyanzanga.