Psalms 146:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama aliramula emirembe gyonna, Katonda wo, ayi Siyoni, mu mazadde n'amazadde. Alleluuya!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaafuganga emirembe gyonna, Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe. Mutendereze Mukama!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaafuganga ennaku zonna, Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama anaafuganga ennaku zonna. Ggwe Siyooni, Katonda wo anaafuganga emirembe n'emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaafuganga ennaku zonna, Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama.