Psalms 146:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama azibula amaaso ga bamuzibe; Omukama akutaamulula abeegose; Omukama ayagala abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama azibula amaaso ga bamuzibe, era awanirira abazitoowereddwa. Mukama ayagala abatuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama azibula amaaso g'abazibe; Mukama awanirira abazitoowereddwa; Mukama ayagala abatuukirivu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
azibula amaaso ga bamuzibe. Ayimusa abagudde, ayagala abalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama azibula amaaso g'abazibe; Mukama ayimiriza abakutama; Mukama ayagala abatuukirivu;