Psalms 147:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alleluuya! Nga kirungi okuyimbira Katonda waffe; nga kisanyusa okumusitulira ettendo!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutendereze Mukama! Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe; kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutendereze Mukama; Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe; Kubanga ajjudde ekisa, n'oluyimba olumutendereza lumusaanira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutendereze Mukama. Kirungi okuyimba nga tutendereza Katonda waffe, kubanga wa kisa era agwana okutenderezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumutendereze Mukama; Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe; Kubanga kwa ssanyu, era ettendo liwooma.