Psalms 147:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula Omukama asanyukira mu abo abamutya, abasuubira mu kisa kye. (147)
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa, era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama asanyukira abo abamutya, Abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula yeesiimira mu abo abamussaamu ekitiibwa, ne mu beesiga ekisa kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yeesiimira abo abamutya, Abo abasuubira okusaasira kwe.