Psalms 147:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abunya wonna omuzira ng'ebyoya by'endiga, obubooya bw'omuzira n'abuwandagaza ng'evvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru, n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga; Omusulo ogukutte agusaasaanya ng'evvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atonnyesa omuzira ogutukula obulala, asansa omusulo ng'evvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga; Amansira omusulo ogukutte empewo ng'evvu.