Psalms 147:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abala akeesedde k'emmunyeenye, n'aziyita buli emu erinnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye; era buli emu n’agituuma erinnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye amanyi obungi bw'emmunyeenye, zonna n'aziwa amannya gaazo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo.