Psalms 147:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama awanirira abanafu, naye ababi abalinnimula ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama awanirira abawombeefu, naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama awanirira abawombeefu; Asuula wansi ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ayimusa abeetoowaze, n'anyigiriza wansi ababi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama awanirira abawombeefu: Asindika wansi ababi.