Psalms 15:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atambula nga taliiko musango, n'akola ekituufu; ayogera amazima ng'agaggya mu mutima;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo ataliiko kya kunenyezebwa, akola eby’obutuukirivu, era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Ayogera eby'amazima mu mutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye oyo awulira Katonda mu byonna, era akola ebituufu bulijjo. Ye oyo ayogera eby'amazima omutali bukuusa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Era ayogera eby'amazima mu mutima gwe.