Psalms 15:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oyo anyooma akola ebyambyone, naye n'assa ekitiibwa mu batya Omukama; akuuma ekirayiro kye ne bwe kiba kimufiiriza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anyooma ababi, naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Atuukiriza ky’asuubiza ne bwe kiba nga kimulumya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaaso ge ganyooma omubi; Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Bw'alayira ne bw'afiirwa, takyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye oyo anyooma abo abatasiimibwa Katonda, naye assaamu ekitiibwa abo abawulira Mukama. Ye oyo atuukiriza ky'asuubizza ne bwe kimufiiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso ge ganyooma omubi; Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Bw'alayira ne bw'afiirwa takyuka.