Psalms 15:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ssente ze ataziwola na buliika, n'atalya nguzi okusaliriza ataliiko musango. Akola ebyo, talinyeenyezebwa emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’awola tasaba magoba; so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna. Oyo akola ebyo aliba munywevu emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Atawolera bintu bye magoba. Tagulirirwa kusaliriza atalina musango. Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye oyo awola nga tagenderera kufuna magoba, era atagulirirwa kusaliriza atalina musango. Akola ebyo, anaabeeranga munywevu emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Atawolera bintu bye magoba. So taweebwa mpeera ku atalina musango. Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna.