Psalms 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagoberera balubaale beeyongera nnaku; siriweereza bitambiro byabwe bya kuyiwa eby'omusaayi, n'emimwa gyange sirigyatuza mannya gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala yeeyongera. Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi, wadde okusinza bakatonda baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abanoonyayo katonda omulala okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako. Sijja kwetabanga mu ssaddaaka ez'okuyiwa omusaayi. Era ssi yatulenga mannya ga ba katonda baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abanoonyaayo Katonda omulala be beeyongerako bennyini okunakuwala. Sijja kwetaba nabo mu kutambira kwabwe, sijja kusinza balubaale baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako abo abawaanyisa Mukama olwa katonda Omulala: Esaddaaka zaabwe ez'okunywa ez'omusaayi ssiiziwengayo. So ssiitwalenga mannya gaabwe mu mimwa gyange.