Psalms 16:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eminyololo gingudde walungi; wamma obusika bwange busanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa, ddala ddala omugabo omulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Byonna by'ompadde birungi. Mazima omugabo gwange mulungi ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byonna biŋŋendedde bulungi, omugabo gwange mulungi ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emigwa ginguddeko mu bifo ebirungi; Mazima nnina obusika obulungi.