Psalms 16:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama mmussa awo mu maaso gange bulijjo; kubanga andi ku ddyo, sirinyeenyezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkulembeza Mukama buli kiseera, era ali ku mukono gwange ogwa ddyo, siinyeenyezebwenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkulembeza Mukama bulijjo. Kubanga andi kumpi, sisagaasagaanenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi nti Mukama ali nange bulijjo, andi kumpi, sijja kusagaasagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.