Psalms 17:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwegayirira kwa Dawudi. Ayi Mukama, wulira ensonga yange entuufu, wuliriza omulanga gwange, tegera amatu essaala yange, okuva ku mimwa egitaliiko bulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira, wuliriza okukaaba kwange. Tega okutu owulirize okukoowoola kwange, kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wulira ensonga ey'obutuukirivu, ayi Mukama, lowooza ku kukaaba kwange, Tega okutu owulire okusaba kwange, okutaliimu bukuusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, wulira okuwoza kwange okw'amazima, tega okutu owulirize bye nkusaba, nga sirina bukuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wulira ensonga ey'obutuukirivu, ai Mukama, lowooza okukaaba kwange; Tega okutu owulire okusaba kwange, okutava mu mimwa egy'obukuusa.