Psalms 17:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannondodde, banneebunguludde; bakalirizza amaaso gaabwe, bammegge ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banzingizza era banneetoolodde; bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano banzingizizza buli gye nzira, Beekaliriza, balyoke bankube wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano banzingizizza buli gye nzira, bandabiriza amaaso, balyoke bankube wansi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano batuzingizizza mu bigere byaffe: Bakaliriza amaaso gaabwe okutusuula wansi.