Psalms 17:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Situka, ayi Mukama, basisinkane, obamegge, n'ekitala kyo obulamu bwange buwonye ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama, oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Golokoka, ayi Mukama, Olwanyise abalabe bange, Omponye omubi ng'okozesa ekitala kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jjangu, ayi Mukama, olwanyise abalabe bange, obawangule. Mponya omubi ng'okozesa ekitala kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Golokoka, ai Mukama, Omuyimirire mu maaso, omumegge wansi: Omponye emmeeme yange eri omubi n'ekitala kyo;