Psalms 17:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, bamponye abo n'omukono gwo, abantu abo empeera yaabwe eri mu nsi muno; olubuto lwabwe lufumbekere ebyo bye wabaterekera, abaana baabwe bakkute, bafissizeewo bingi amabujje gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, mponya abantu, abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi. Embuto zaabwe zigezze, obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe ne bazzukulu baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, mponya, Eri abantu ab'ensi, abalowooleza mu mugabo ogw'obulamu buno Embuto zaabwe ozijjuze bye wabateekerateekera, Abaana baabwe bafune ebibamala, Wafikkewo n'ebirimala abazzukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, mponya abantu abalowooleza mu kufuna ebintu eby'ensi. Embuto zaabwe ozijjuze bye wabateekerateekera, abaana baabwe bafune ebibamala, wafikkewo n'ebirimala abazzukulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eri abantu n'omukono gwo, ai Mukama, Eri abantu ab'ensi, abalina omugabo gwabwe mu bulamu buno, N'olubuto lwabwe olujjuza obugagga bwo: Banyiye abaana, N'ebintu byabwe ebisigalawo babirekera abaana baabwe.