Psalms 17:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoleka ebikuuno by'ekisa kyo, ggwe ataasa n'omukono gwo ogwa ddyo abo abaddukira gy'oli okubawonya ababasitukiddemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa, ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laga ekisa kyo eky'ekitalo, ggwe alokola abakwesiga, N'obawonya abalabe baabwe
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laga ekisa kyo ekyewuunyisa, ggwe alokola abaddukira gy'oli okuwona abalabe baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laga ekisa kyo eky'ekitalo, ggwe alokola abakwesiga, Mu abo ababagolokokerako, n'omukono gwo ogwa ddyo.