Psalms 18:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kitangaala ekiri w'abeera muvaamu ebire, wamu n'omuzira n'enjota.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera; mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abwatuka mu ggulu, Eddoboozi ly'oyo ali waggulu ennyo ne liwulirwa, Ne wabaawo amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama era yabwatuka mu ggulu, eddoboozi ly'Atenkanika ne liwulirwa. Ne wabaawo amayinja ag'omuzira, n'amanda ag'omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama n'abwatuka mu ggulu N'oyo ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye; Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.