Psalms 18:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yalasa obusaale bwe n'ababunya emiwabo, n'okubwatuka kwa laddu okw'amaanyi n'abasaanyaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula olw’okunenya kwo Ayi Mukama n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne girabika, Mu kunenya kwo, ayi Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wakayukira abalabe bo, ayi Mukama, era bwe wababoggolera mu busungu bwo, entobo y'ennyanja n'erabika, n'emisingi ensi kw'enyweredde ne gyeyerula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Mu kunenya kwo, ai Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo,